Ismael Ssemakula akakasizza bannakalungu nti essuubi lyabwe lisigadde eri kkooti

Ebyo nga biri bityo awakanya obuwanguzi bwomubaka wa Kalungu West munnakibiina kya NUP Joseph Ssewungu ng'ono ye Ismael Ssemakula akakasizza bannakalungu nti essuubi lyabwe lisigadde eri kkooti kuntambuza ya box zobululu obugenda okuddamu okubalibwa leero basobole okufuna obuwanguzi bwebabababbako.
Kulwokusatu lwa ssabbiiti eno omulamuzi akulira kkooti ento e Masaka Herbert Asiimwe yalagira akalulu ka Kalungu West kaddemu kabalwe olwaleero oluvanyuma lwokwemulugunya Ismael Ssemakula kweyatwala mu kkooti nga awakanya obuwanguzi bwa Ssewungu era nasaba obululu buddemu bubalwe kuba alina obujulizi obumala nti Ssewungu eyamuwangulira kubululu 46 bwokka obululu obwabalwa bwali bunji.
Ssemakula eyajja nga talina kibiina agambye nti okuva webalangirira Ssewungu yye nabawagizibe obulili babuteera ddala kukitebe kyakakiiko kabyakulonda okutuuka olwaleero okulemesa omuntu yenna asala box zobululu.
Wabula leero nga kkooti enteekateeka okuddamu okubala Ssemakula asiimye akulira enkambi yamaje e Kasijjagirwa nomuduumizi wa police mubbendobendo lino ababawa abebyokwerinda abazze babakuuma era agumizza abawagizibe nti bakubuukayo nobuwanguzi.
Obululu buno omulamuzi akulira kkooti ento e Masaka agenda kububalira ku kkooti e Kalungu leero ku ssaawa nnya wabula Ssemakula azzeemu okusaba kkooti ebataase erondoole entambuza yobululu buno okutaasa omuntu yenna asobola okumenya box.
Wabula omulamuzi wa kkooti ento e Masaka Herbert Asiimwe asabye akakiiko kebyokulonda okukakasa obukuumi bwa box zonna nga bali wamu nabakozi ba kooti era nasaba bannakalungu okwewala okkola effujjo ku kkooti webagenda okubalira obululu buno.
Olunaku olwaleero eggwanga lwerigenda okumanya omutuufu eyawangula ekifo kyomubaka wa palamenti owa Kalungu West wakati womubaka Joseph Ssewungu aliyo owa NUP ne Ismael Ssemakula.












