ON AIR: +256781517228 | +256752988955  |  DOWNLOAD OUR APP

Okulonda kwa Local Government e Masaka

Akakiiko kebyokulonda mu kibuga masaka kalangiridde mu nakibiina kya Nup Florence Namayanja okudamu okukulembera ekibuga Masaka nga mayor oluvanyuma lwokumrgga banne bonna bwebadde mulwokano luno mukalulu akakubiddwa olunaku lweggulo.

Akulira akakiiko kebyokulonda mu kibuga Masaka Naduli Ahmed Musis alangiridde munakibiina kya Nup Rose Mary Namayanja bwameze banne nobululu 22568, olwo akutte ekyokubiri munna NRM Ddembe Fredrick kipaapaali nafuna obululu 9032, munnakibiina kya DF Mulindwa Nakumusana akutte kyakusatu nga ye afunye obululu.4933, Ate ye Kayemba Afaayo abadde tayina kibiina nafuna obululu 761 nawelekerwa era munne bwebabadde tebayina kibiina Sengabi Fransis  Nobululu 60.

Bino byonna bibadde bigenda mumaaso nga byo ebyokwerinda binyezedwa Gulugulu obutawa mwaganya abo bonna abalowooza okukola efujjo ku kifo ewalangirirwa.                            

Mubufu bwebumu era akulira ebyokulonda alangiridde munakibiina kya Nrm Rosette Nansubuga nga omuwanguzi kubwa kansala omukyala okukyikirira Kimanya Kabonera B bwafunye obululu 3657 olwo nadirirwa munna Nup Ndibalekera Josephine nga ono afunye obululu 3056, kyokka era ono alangiridde munakibiina Kya Nup Nanyozi Harriet nga kansala wa Kimanya Kabonera A kulukiiko lwa city ye kibuga Masaka nga omuwanguzi bwawangudde bane Nobululu 2781 nadirirwa muna Nrm Nabakoza Agnes Kizza Nobululu 2197.

Wabula era alangiridde munakibiina kya Nup Mwanje Resty Nanyonjo nga omuwanguzi kubwa kansala omukyala owa Nyendo Mukungwe B ku lukiiko lwa city nga omuwanguzi bwamezze banne bwebabadde mulwokano Nobululu 5268 nadirirwa munakibiina kya NRM Nakiganda Winnie Nobululu 2165 nabalala nebagoberera

Wabula era alangiridde munakibiina kya Nup Nasaali Regius nga omuwanguzi kubwa kansala omukyala owa Nyendo Mukungwe A bwamezze banne nobululu 3483 nadirirwa muna Nrm Birungi Agnes nga ono afunye obululu 1753 kyoka era alangiridde munakibiina Nup Nabunya Florence nga omuwanguzi nga ono amezze banne bwebadde mulwokano nga afunye obululu 4827 nadirirwa muna Nrm Namukasa Zaituni nga afunye obululu 1749. 

Mungeri yemu era alangiridde munakibiina kya Nup Mawanda Achilles nga omuwanguzi kubwa kansala obwa Nyendo Mukungwe kulukiiko lwa City Masaka nga amezze banne bwebadde mulwokano nga afunye obululu 13560 nga adiridwa munakibiina kya Nrm Ddumba Mathias nga ono afunye obululu 5493.

Radio Buddu esobodde okwogera ko nabo kubawangudde ebifo bino nga bakulembedwamu Florence Namayanja era bano basubiza okukolera banna masaka.