
Abasomesa abasomesa amasomo ga Arts mubbendobendo ly’e Masaka berayiridde obutadda mubibiina kusomesa okutuusa nga gavumenti ebongedde omusaala nga bweyabasuubiza omwaka oguwedde.
Abasomesa bano abegattira mukibiina ekibataba ki Uganada Professional Humanities Teachers Union basinzidde mukwekalakaasa kwebabaddemu mu Nyendo mukibuga Masaka nga balaga obutali bumativu olwa gavumenti okubalaba nga abatalina makulu mubyenjigiriza bya Uganda nesalawo okusosowaza abasomesa ba sayansi bokka.
Kinajjukirwa nti mumwaka gwebyensimbi ogwa 2022/2023 gavumenti yayongeza abasomesa ba science aba siniya omusaala okuva ku 1.2m buli mwezi okutuuka kubukadde 4m buli mwezi songa ate bannabwe abamasomo ga Arts basigala kumitwalo 900,000 nokudda wansi okusinziira kuddaala buli omu kyalina.
Abekalakaasizza bagamba nti emitwalo ataano ejibaweebwa kumusomesa wa diploma ,nemitwalo 80 ejiwebwa omusomesa ali kudaala lya Degree mitono nnyo bwogerageranya nembeera yebyenfuna eriwo era baagala bongozebwe emisaala nga wekyakolebwa kubasomesa ba Science.
Ekiwandiiko ekyawamu ekisomeddwa Tumusiime John Baptist abasomesa ba Art bagambye nti sibakudda mubibiina okujjako nga bongezeddwa omusaala.
Kafeero Yusufu amyuka ssentebe atwala abasomesa bamasomo ga Arts mubbendobendo lye Masaka agambye nti bakooye bakooye ebisuubizo bya gavumenti ebitatuukirira
Mungeri yeemu agambye nti embeera nga bwebayisa naddala eyebbeeyi yebintu eyeyongera buli kadde,ebbeeyi yamafuta,ebisale byamasomero gyebawererera abaana nebirala,abakosa kyekimu nabasomesa ba sayansi naye bewunya bbo okubalaba nga abatalina makulu muggwanga lino ate nga nabakulembera eggwanga lino abasinga obuunji tebasoma sayansi wabula amagezi gebakozesa gabasomesa ba Arts.
Okwekalakaasa kuno tekwakomye Masaka wabula kwabunye ebitundu byeggwanga ebyenjawulo era banji okutandika nolunaku lweggulo ebikola babitadde wansi.
Akulira abasomesa ba ARTS mu district ye Bugiri Bwire Aloysius naye ategezezza nti sibakukwata kunnoni okutuusa nga government nga eyita mukitongole kyebyenjigiriza etukirizza ekisubizo kyeyakola ekyokubongeza omusaala nga bweyakola kubanaabwe abasomesa amasomo ga science.













